Joel 1:8-13


8 aMukungubage nga nnamwandu omuto afiiriddwa bba,
ng’ayambadde ebibukutu olw’ennaku.
9 bEbiweebwayo eby’emmere ey’empeke n’ebiweebwayo eby’okunywa
tewakyali kirabikako mu nnyumba ya Mukama.
Bakabona abaweerereza mu maaso ga Katonda
bakungubaga.
10 cEnnimiro ziweddemu ebirime;
ettaka likaze,
Emmere ey’empeke eweddewo,
omwenge omusu n’amafuta g’emizeeyituuni ne bibulira ddala.

11 dMmwe abalimi mukwatibwe entiisa,
mmwe abalima emizabbibu mukaabe.
Mukaabire eŋŋaano ne sayiri,
kubanga ebyandikunguddwa byonna biweddewo.
12 eOmuzabbibu gukaze
n’omutiini guyongobedde.
Omukomamawanga, n’olukindu ne apo
n’emiti gyonna egy’omu nnimiro giwotose.
Abantu tebakyalina ssanyu.

Abantu bayitibwa Okwenenya

13 fMmwe bakabona, mwesibe mwambale ebibukutu mukungubage.
Mmwe abaweereza ba Katonda wange ab’oku kyoto,
mweyale wansi awali ekyoto,
musule awo ekiro kyonna nga mukuba ebiwoobe,
kubanga mu nnyumba ya Katonda wammwe temukyali kiweebwayo kyonna,
eky’emmere ey’empeke oba eky’envinnyo.
Copyright information for LugEEEE